‘Tetumanyi misango gituvunaanwa’, aba NUP abaawereddwa nsalessale bogedde
Abamu ku babaka b’ekibiina ki NUP abaasoowagana n’ekibiina bagamba eky’obukulembeze bw’ekibiina okubawa nsalessale wa mwezi gumu aga betonze ssi baakukigondera kuba ekibiina tekinnabasomera misango gyebazza. Kyokka bano beetemyemu ku ky’okuddamu okuvuganyiza ku kaadi y’ekibiina ng’abamu bagamba baakuddamu okusaba ate nga waliwo n’abalangiridde obutuuze mu bibiina ebirala.