“Tukooye okusula mu weema” Abaakosebwa kasasiro e Kiteezi balaajanye
Abatuuze b’e Kiteezi abawangaalira mu weema bagamba nti bakooye okubeerawo nga kale kyandibadde kirungi gavumenti okwanguyiriza ku ntekaateka ezibaggyawo. Bagamba nti embeera gyebalimu eyungula ezziga kubanga n'abafumbo basula kirindi n'abatalina babeezi kyebagamba nti kibabuzizzaako obwekyusiizo. Bino babitegezeezza akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z'omukulembeze ababadde bagenzeeyo okulaba embeera nga bweri.