Ab’e Buvuma bagamba ambulance gye baabawa tebayambye olw’amafuta
Abantu abawangaalira ku Bizinga mu disitulikiti y'e Buvuma bagamba nti ambulance yo ku mazzi eyabaweebwa gavumenti gyebuvuddeko tebayambye olwokuba nti bangi ku bbo tebasobola kugiguliramu mafuta. Bano bagamba nti ambulance eno ekozesa amafuta mangi, nga Kati baagala gavumenti ebafunireyo ku ambulance ezikozesa amafuta amasaamusaamu. Okwogera bino baabadde basisinkanye abakungu okuva mu Global Fund abaabadde balondoola eby'obulamu mu disitulikiti eno.