E Mityana bannadiini bakubiriziddwa okwettanira okulima emmwanyi
Omulabirizi w'e Mityana James Bukomeko asabye abaweereza mu kkanisa ya Uganda okwenyigira mu kulima emmwanyi okusobola okwegobako obwavu Bukomeko okwogera bino abadde ne ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi nga batongozza kawefube gwe batandiseeko okugobwa obwavu mu baweereza nga babakubiriza okwenyigira mu kulima emmwanyi .Abaweereza basoose kubangulwa mu byyokulima emmwanyi n'oluvannyuma ne balambuzibwa ennimiro z'emmwanyi.