Abakugu bazudde ekifuula endwadde ezitasiigibwa ez’obulabe
Abasawo bazudde engeri endwadde ezitasiigibwa gye zifuusemu ekizibu mu ggwanga olw’okubanga bw’okwatibwa obumu ku bwo kyangu nnyo okuba nga olina obulwadde obulala. Kyokka omuntu alwawo okumanya nti alina obulwadde obutasiigibwa ate bw’abumanya tasooka kumanyirawo nti alina obusukka mu bumu. Kaakano abasawo bali mu kusala ntotto ey’okulaba nga banguyiza abasawo abalala okukebera n’okumanya nti omuntu alina obulwadde obwenjawulo asobole okufuna obujjanjabi amangu.