Musaayi muto Maxine Anyango ayitiddwa ku tiimu y’e ggwanga ey’ensero
Musaayi muto, Maxine Annyango y’omu ku bazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya U18 Junior Gazelles abaayitiddwa okwegatta ku ttiimu y’eggwanga ey'abakyala abazannya omuzannyo gwa basketball enkulu, Gazelles yeetegekera empaka za Zone V Women's Afrobasket Qualifiers ezigenda okuyindira e Egypt omwezi ogujja. Empaka zino z'ezisunsula abazannya ez'akamalirizo, FIBA Women's Afrobasket era nga kati Annyango atunuulidde kulondebwa ku ttiimu esembayo.