E Namutumba abatuuze batandise okuzira e nnyama lwa bujama mu lufula
Abatuuze be Namutumba baagala abakulira tawuni kanso babazimbire lufula ennungi, kiyambe okukendeeza ku bujama mu lufula kati gye balina. Disitulikiti yonna erina lufula emu eyazimbwa mu ngeri ya gadibengalye, kyoka nga njama nnyo ekireseewo okutya mu batwala eby’obulamu. Abakinjaagye bagamba nti n’abaguzi be nnyama mu kitundu kino bagenze bakendeera nga batya okufa endwadde eziva ku bujama.