URSB yaakuyamba ab’emyooga ku mutindo gw’ebifulumizibwa
Bannayuganda bangi abali mu nkola y’emyoga okwetoloola Uganda abasoomoozebwa mu kufuna obutale olw’okuba byebakola tebikakasibwanga kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga ki Uganda bureau of Standards ekiremesesa ebyamaguzi byabwe okuvuganya ku katale Okugeza abwomwoga gwa Northern Division Constituency Emyooga Sacco e Mbale, bakola ebintu ng’obuwunga, envviinyo, ekipooli n’ebirala wabula beesanze nga babitunda mu bubba kuba tebannafuna bisaanyizo byonna naddala ebikakasa omutindo gwabyo . Kati gavumenti ng’eyita mu kitongole kya Uganda Microfinance Support Centre, ekwataganye n’ebitongole, omuli ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS), Uganda Registration Services Bureau (URSB), n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku musolo ekya URA okulaba ng’abemyooga bafuna ebisaanyizo byonna ebibasoobozesa okuvuganya obuluungi mu katale.