Museveni akubirizza abavubuka e kamuli okukozessa enteekateeka gavumenti
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni, akubirizza abavubuka mu disitulikiti ye kamuli okukozessa enteekateeka gavumenti zebateereddewo okwaggya mu byavu nga Parish Development Model ne Emyooga , okusobola okwegobako obywavu, wamu n’okwewala okukozesa entobazzi mubukyamu.Museveni yabadde ku kisaawe kya kamuli Youth Centre, mu kaweefube gwabadde okutalaaga ebitundu bya Busoga ngalondoola engeri enteekateeka za gavumenti ez’okwejja mu bwavu gye zitambuzibwamu Abavubuka mukitundu kin basabye Museveni okubakwasizaazo mukutumbuula enkulakulana yaabwe.