NEMA eriko bannansi ba China abalala babiri beekutte lwa kusima omusenyu mu ntobazzi
Waliwo bannansi ba China babiri abakwatiddwa ekitongole ki NEMA nga balangibwa kusima musengu mu mugga Katonga. Aba china bano bakukunuddwa mukitoogo gyebabadde be kwese ku kyalo NASIITA mu muluka gwa Nabwewanga mu district ye Mpigi.Onojjukira nti wiiki bbiri eziyise, bannansi ba China abalala mwenda baakwatibwa lwa kusima musenyu mu mugga guno nga tebafunye lukusa.