Ab’e Lugazi basiibye bagobagana n’ebinyira
Abatuuze mu minisipaali ye Lugazi mu district ye Buikwe bali ku yoleke yolw’ebinyira ebikedde okusalako obwengula bw’ekitundu. Abatuuze kati bali mu kusattira nga bagamba nti endwadde ezeetikkibwa ebinyira bino ziyinza okubaggwerako. Abakulembeze mu kitundu kino nabo bakyasobeddwa ku ky’okukolera abagenyi abapya bano bebatamanyidde.