Ab’episikoopi beeraliikirivu nti akalulu ka 2026 kandibaamu emivuyo
Abasumba abatuula ku lukiiko olutaba Abeepiskoopi mu Uganda, olwa Uganda Episcopal Conference batubuulidde nti okutya kubeyongedde ku ngeri akalulu ka 2026 gye kagenda okubeeramu era nga bbo balowooza nti kaakumaamirwa emivuyo egitoogerekeka. Abakuli basinzidde mu bbaluwa yaabwe nnamutayika ey'omulundi ogw'abiri mu omusanvu gyebawandiikidde abakkirizza bonna mu ggwanga nga bayisa galubindi mu bigenda mu maaso.Bano bagamba nti ebyali mu kalulu ka Kawempe North byalagula bingi mu butya 2026 bw'agenda okuba era basabye ne bekikwatako okuyimbula abantu abazze bakwatiibwa ku nsonga z'ebyobufuzi.