Ab’oludda oluvuganya beeganye obukadde 100 ezaweereddwa ababaka
Ababaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti babaze ekiwandiiko kwebateeka e mikono nga okukasa nti tebaakutte ku nsimbi obukadde 100 ezigambibwa okuba nga zaaweereddwa abamu ku babaka ba Palamenti. Bano besazeewo n’okutegeeza ku kalisoliiso wa gavumenti okutandika okunonyereza ku nsimbi zino. Webuwungeredde nga ababaka 35 batadde omukono ku kiwandiiko mwebeyamidde obutakwata ku nsimbi zino.