Mu Kampala KCCA etandise okutimbulula ebipande by’ebyobufuzi
KCCA etandise kaweefube w’okutimbula ebipande bya bannabyabufuzi abeegwanyiza ebifo eby’enjawulo mu Kibuga Kampala, ng’egamba bino byatimbibwa mu bumenyi bw’amateeka. Kyokka bannanyini bipande, beesomye okutwala KCCA mu kkooti bagivunaane okubafiiriza ensimbi.