Aba FDC abaakwatibwa e Kenya boogedde ebyaliwo nga babayoola
Banna-FDC 36 abaakwatibwa mu ggwanga lya Kenya nebakomezebwawo kuno nga kati beeyimirirwa ku misango gy'okulya mu nsi yaabwe olukwe, balayidde nga bwebagenda okusigala nga bakyalwanirira enkyukyuka. Bano olwaleero baliko ebyama ebirala bye babikudde ku ngeri gye bakwatiibwamu mu mwezi Gwomusanvu mu kibuga Kisumu nga balumiriza nti abaabakwata baali bannayuganda bwoya nga n'olulimi lwe boogera balutegeera.FDC ey'e Katonga egamba ekyayagala gavumenti y'e Kenya eveeyo ku nsonga eno, ennyonnyole bino bwe byagwawo nga ate weeri eraba.