Aba FDC y’e Katonga baagala abakwaatibwa e Kenya bateebwe
Pulezidenti wa FDC ow'ekiseera ow'ekiwayi ky'e Katonga Erias Lukwago ayagala banna FDC abaakwatibwa mu ggwanga lya Kenya nebakomezebwawo kuno bayimbulwe bunnambiro awatali kakwakkulizo kkona.Banna FDC bano 36 mu mukiseera kino baakuumirwa ku poliisi e Naggalama nga ab'obuyinza e Kenya babasanga Ku ttendekero ly'ebyobufuzi elya Ukweli Pastoral Leadership Centre mu kitundu ekimanyiddwa nga Nakuru nebabeekengera era olwakwatibwa nebazzibwa ku butaka nebakwasibwa poliisi ya Uganda.Lukwago agamba nti era baakuwandiikira eggwanga lya Kenya nga beemulugunya ku nsonga y'okutyoboola eddembe ly'abantu baabwe nga bayita mu kitebe kya kenya ekiri kuno.