Aba KCCA balemeseddwa bakanyama okuyimiriza ekizimbe kya ‘Ham’
Abakulembeze ku kakiiko ka KCCA akavunanyizibwa ku bizimbe n’enteekateeka y’e Kibuga Kampala balemeseddwa okuwaayo ekiwandiiko ekiyimiriza ekizimbe ekizimbibwa ku mwala oguyitibwa Jagura nga guno guli kumpi n’akatele k’Owino mu Kampala. Bano bagamba nti akakiiko kaakizudde nti eky’omugaga Hamis Kiggundu (HAM) okuzimba ku mwala guno akikola mu bumenyi bwa mateeka, era ng’okugenda maaso n’okuzimba kyandisuula bannaKampala mu katyabaga.