Aba minisitry y’obuntu-bulamu beeyabizza
Abakulu abaddukanya ekitongole kya gavumenti eky’empisa n’obuntu bulamu ki directorate of Ethics and Integrity bagamba nti okulwanagana mu kitongole kino kuvuddeko emirimu okwesiba sako n’okuleetera Ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti okulowooza nti balina sente ze babulankanya. Bano,alippota ya Ssaababaliririzi w’ebitabo bya gavumenti ebalumiriza okubulankanya obukadde 201 obwalina okukola emirimu emirala , bbo ne baziteeka mu bitakanyizibwako.Okwogera bino babadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensasaanya ya ssente z’omuwi w’omusolo.