Benjamin Agaba, eyeeyokyeza ku palamenti tayambiddwa
Famile ya Benjamine Agaba, omuvubuka eyeekumako omuliro ku palamenti nabengeya omutwe, ewanjagidde abazirakiisa okubadduukirira okusobola okutaasa obulamu bw'omuntu waabwe.Wiiki ewedde, ekibiina kye ki NRM kyeyama okumuyambako ku by'obujanjjabi, olwo bawulire ensonga ze wabula bugenze kutuuka leero nga bano tebawerezangayo yadde ekikumi.Olwaleero, Agaba alongooseddwa okusobola okutereeza ebitundu by'omubiri eby'akosebwa ekisusse.