Enkuba ey'amaanyi esuubirwa okutonnya mu masekkati g'omwezi guno
Enkuba ey'amaanyi esuubirwa okutonnya mu masekkati g'omwezi guno, okusinziira ku bakola ku nteebereza y'obudde. Emyezi kati giri mu ebiri ng'omusana ogwaka okukamala era nga abantu tebakyebikka olw'ebbugumu eringi. Abakugu batubuulidde nti ebbugumu lyeyongedde lwa bantu kusigala nga basanyaawo obutonde bw'ensi kyokka nga ne mu kiseera ng’enkuba etandise, ejja kuba ya bulabe lwa nsonga y'emu ey'obutonde bw'ensi okulinnyirirwa.