Swaibu Kaggwa, omwana we eyagongobala amuyisizza mu bingi
Mu mboozi yaffe eyookubiri ey'omwana eyagongobala oluvannyuma lw’okumulongoosa ogenda kulaba obugubi kitaawe bw'ayitamu okumulabirira okuva lwe baasiibulwa mu ddwaaliro kati emyaka etaano.Yeekokkola abamuwa amagezi okufuna bwe yeggyako omwana ono ky'agamba nti tasobola kukikola newankubadde akaluubirizibwa okumulabirira.