E Fort Portal, ekirwadde ki Ebola kisse omwana
Ab’ebyobulamu e Fort Portal baliko abantu bana bebaawudde nga n’abalala bakyabetegereza oluvanyuma lw’okukimanyaako nti baaliko n’omwaana ow’emyaka ena eyafa ekirwadde kya Ebola e kampala naziikibwa Ntoroko wiiki bbiri eziyise.Kati abebyobulamu balabudde abatuuze okutandika okubeera obulindaala , kubanga ekirwadde kino kyandiddamu okwegazaanyiza mu disitulikiti eno.