Aba NUP baguddwako gwa butujju, kigambibwa nti baali bategese okutega bbomu
Kkooti enkulu ewozesa bakalintalo , eya international crimes division of the high court eriko bannakibiina ki NUP kkumi n’omu beekakasizza nga bwe beenyigira mu bikolwa eby’obutujju.Kati kino kitegeeza nti emisango egyabaggulwako gy'akuwuklirwa era gisalwe kkooti eno.Okusinziira ku ludda oluwaabi bano baali baluka olukwe okutega bbomu mu lukungaana lwe'byobufuzi olumu olwategekebwa nta 8 May, 2023 mu bitundu by'e Nabweru ne Kawempe.