Abaafiirwa amayumba e Kiteezi balemeddewo, baagala kusooka kuliyirirwa
Bannyini mayumba agaabuutikirwa Kasasiro e Kiteezi ssaako n'ago agaayonoonebwa mu njega eno bakombye kwelima obutava mu nkambi eyeekiseera eyassibwawo ku ssomero lya Kiteezi Church of Uganda Primary School okutusa nga gavumenti ebaliyiridde bye baafiirwaOlwaleero abaali abapangisa mu nnyumba ezaabuutikirwa, gavumenti ebawadde obukadde bubiri buli omu bagende batandike obulamu awalala .