Abaakwatibwa ku nsimbi ezaabula, ku bantu 8 kkooti ekkirizzaako 6 okweyimirirwa
Kkooti ewozesa abalyake , kyadaaki ekkiriza abakungu ba minisitule y’ebyensimbi mukaaga okweyimirirwa, nga bano beebamu kwabo omwenda abavunaanwa e misango egyekuusa ku kubulankanya nsimbi obuwumbi obusoba mu nkaaga okuva mu banka enkulu eya Uganda nga bayita mu byuuma bikali magezi.