Embeera y’amasomero; e Hoima waliwo eririna enjatika mu bizimbe
Mu kibuga kye Hoima waliwo abazadde abali mu kutya olw’esomero lyabwe erisembeeredde okugwa, kyoka nga lyaakamala emyaka 97 nga lisomesa abaana mu kitundu kino. Essomero lino li Parajwoki Primary School lirimu abaana abasoba mu 400 kyoka ebibiina byonna bikutte mu mbinabina , nga n’ebimu amabaati gaabambuka. Ow’ebyenjigiriza mu kibuga kino Johnson Kusiima Baingana agambye nti betaaga obukadde nga 200 okudaabiriza essomero lino.