Abatuuze beekoledde olutindo, olwaliwo lwatwalibwa amataba mu 1997
Abatuuze mu disitulikiti ye Manafwa basazeewo okwekolera olutindo lwoyinza okuyita olwa “magezi maganda”,oluvanyuma lwomugga manafwa okutwala olutindo olwaliwo kati emyaka 27 egyakayita. Bagamba nti balinze gavumenti okubakolera olutindo luno okuva mu mwaka 1997, kyokka nga mpaawo kikolebwa naguno gujjwa.Kati basazeewo okwezimbira olutindo olwabwe olw’emiti bawone okwekoloobya nga bagenda mu malwaliro, n’abaana abasoma balweyambise okutuka amangu ku masomero.