Okwanja obugagga ewa Kalisooliso, agamba waliwo bangi abakyamwepena
Kalisoliiso wa gavumenti Betty Kamya mwennyamivu nti nakati abamu ku bakozi ba gavumenti kko n’abakulembeze abalonde bakyagaanidde ddala okwemanyiiza eky’okwanja eby’obugagga bye balina ng’amateeka bwegalagira.Kamya agamba nti ebbanga lyeyakamala mu wofiisi eno akizudde nga bano bwebajja okwanja eby’obugagga bye balina e bisinga babikukulira,ekyongedde amaanyi mu muze gw’obulyake.Okwogera bino Kamya abadde alangirira okutandika entekateeka y’okwanja eby’obugagga by’abakozi ba gabvumenti eri kalisoliiso omwaka guno nga kino kikolebwa buli luvanyuma lwa myaka ebiri.