Okuwamba bannabyabufuzi, Douglas Mutebi abadde amaze omwezi nga talabika
Waliwo omuvubuka wa myaka 20 ali mu kujanjjabibwa, oluvannyumwa lw'abagambibwa okuba ab'ebyokwerinda okumuwamba nebamutulugunya.Douglas Mutebi, abadde kumpi amaze omwezi mulamba bukya awambibwa abasajja ye b'akakasa nti ba byakwerinda nga bwe bamutuusa gye baamutwala, bamubuuza bingi ebikwata ku kibiina ki NUP.Ono yasuuliddwa lunaku lwa ggulo mu bitundu by'e Makindye nga tatwalidwako yadde ku poliisi okuggulwako omusango gwonna.