Abaali bawoleza mu kkooti y’amagye tebakyebaka olw’ebbago ly’okugikomyawo
Ab’oludda oluvuganya mu paalamenti basiibye balambula abamu ku basibe abaali bavunaanibwa mu kkooti y’amaggye. Bagamba nti newankubade kkooti ensukulumu yayimiriza kkooti y’amaggye okuwozesa abantu ba bulijjo, file zabano ne gyebuli kati tezitwalibwanga mu kkooti za bulijjo nga kkooti ensukulumu bweyalagira.Batubuulidde nti abasibe bebasisinkanye bali mu bweraliikirivu olw'omupango ogukolebwa okuzzaawo kkooti y'amagye eno ate eddemu okubawozesa.