Dr. Kizza Besigye azzeemu okusaba okweyimirirwa
Dr. Kiiza Besigye ne Munne Obeid Lutale nga bayita mu bamanamateeka baabwe bazeemu okuteekamu okusaba kwabwe okw'okweyimirirwa mu kkooti enkulu oluvanyuma lwa kkooti y’emu okugaaana okusaba kwabwe gyebuvuddeko. Kinajjukirwa nti bweyali agoba okusaba kwabwe Omulamuzi Rosette Comfort Kania yategeeza nti newankubadde ababiri baali batuukirizza ebisanyizo by’okweyimirirwa kkooti yali teyinza kukkiriza kusaba kwabwe kubanga ebisango egibavunaanwa gya Naggomola ng’okuteebwa kwabwe kuyinza okutaataganya okunonyereza okugenda maaso.