Uganda tegenda kukiikirirwa e Vatican mukulonda Paapa
Uganda Y'emu ku nsi ezitagenda kukiiririrwa mu kukuba akalulu k'okulonda Paapa omuggya anadda mubigere bya Paapa Francis eyafudde ku ablaza ya wiiki eno.Okusinziira ku mubaka wa paapa mu uganda, Luigi Bianco, Eteeka lya Ekelezia elyaleetebwa omutukuvu Paapa Paulo IV mu 1559, kalidinaali yenna atuula ku kakiiko ka baabalidinaali mu Vatican, nga asussa emyaka 80, takkirizibwa kwetaba mukulonda paapa muggya. Mu kiseera kino, Kalidinali Emmanuel Wamala alina emyaka 98.