Engeri okukyala kwa Paapa mu Uganda gye kwakyusaamu ebifo gye yakyala
Mu mwaka 2015 paapa Francis kakati Omugenzi yagenyiwalako mu Uganda, mu kukyala nakati okukyatwalibwa nga okw’ebyafaayo. Olw’akeetereekerero akaaliwo,ekibuga kyonna kyayoyootebwa naddala ebijjukizo by’abajjulizi e Namugongo ne Munyonyo kko n’ebifo ebiriranyeewo. Mu kasera kano ng’ensi yonna ekunguba olw’okufa kwa Paapa - tutuseeko mu bifo ebyakulakulana olw’okukyala lwa Paapa mu Uganda mu mwaka 2015.