Rose Kalule ku myaka 65 akuba mattafaali - 0703507534 (Irene Birungi)
E Maganjo - Kagoma mu disitulikiti ye Wakiso waliyo omukyala Nnalongo Rose Kalule ow’emyaka 60 eyakamala kati emyaka 30 ng’akuba bulooka okusobola okwebezaawo. Weereza obuyambi eri +256703507534 Irene Birungi (muwala we) Omukyala ono okutandika omulimu guno ennaku yamala kumuluma n’abaanabe 10 beyali azadde - n’asalawo amaanyi agateeke mu kukuba bulooka era zino zezimubezezaawo n’okuweera abamu ku baana be.Kyokka kati ono asula ku bunkenke anti ekibanja kwali yakisinga ew'abawozi b'e nsimbi asobole okufuna ensimbi ezatwala mutabani we e bweru okukola, oluvanyuma lw’okutikkirwa naabulwa e mirimu e Uganda.Sharifa Nambi ayogeddeko naye.