Okukungubagira Paapa, omulambo gwe guli mu Eklezia ya St. Peter
Agava e Vatican galaga nti ebisigalira bya Paapa Francis wetwogerera bino nga biri mu kibangirizi kya Kelezia y'omutuukirivu Peteero e Vatican okusobozesa abantu bonna abaliwo okumukubako eriiso evvannyuma.Wano omulambo gwakubeerawo okumala ennaku ssatu okutuusa ku Lwomukaaga ono lw'agenda okusabirwa n'okukungubagirwa mu butongole.Abantu abasoba mu mitwalo ebiri batuuse ddala e Vatican okulaba ku Francis omulundi ogusemberayo ddala.