Abaana babiri batwaliddwa omugga Sebwe e Kasese
Waliwo abaana babiri ku kyalo Muramba mu ggombolola ye Bugoye e Kasese, abafudde oluvannyuma lw’okutwalibwa amazzi g’omugga Ssebwe gwe baabadde bagezaako okusala akawungeezi k’eggulo .Abaana bano ng’omu wa myaka 11 n’omulala nga wa myaka ebiri baabadde bava kulima ne bazadde baabwe .Amazzi g’omugga Ssebwe okweyongera kyavudde ku nkuba eyamaanyi eyatonnye mu nsozi za Rwenzori .