Ababadde batunda sseminti omuccupule e Luwero bakwatiddwa
Poliisi mu district y’e Luweero eriko abaami babiri begombyemu obwala ku bigambibwa nti bababadde bacupula cement n’ebamala n’abamutunda.Kigambibwa ntii bano babadde bagula cement owa ddala oluvanyuma n’abamutabulamu enfuufu eyagala okufanana nga cement n’ebaddamu nebamupakira mu bukutiya n’ebamutunda.Ab’ekitongole ky’omutindi mu ggwanga ki UNBS nabo ensonga zino baziyingiddemu.