Ababaka 12 sipiika abagobye mu ntuula 3 eza palamenti
Ababaka 12 bagobeddwa mu ntuula z'a palamenti eziwera ssatu olwa sipiika kyayise okusiiwuuka empisa mu lutuula lwa palamenti olw'olwaleero olusazeewo okuyisa ebbago ly'etteeka ku mmwanyi li National Coffee Bill erigendereddwamu okuggyawo ekitongole kyemmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority.Akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi agamba nti abamu ku babaka abagobeddwa mu ntuula balumiziddwa nga bakwatibwa abantu abalowoozebwa okuba nga babyakwerinda.