Omuyizi eyazadde Bukomansimbi leero y’omu ku batudde ebigezo bya P.7
Abayizi mu district ye Bukomansimbi batandise bulungi ebigezo byabwe ebya Kamalirizo.Mu bano mwe mubadde n’omuyizi gwe twakulaze eggulo eyazadde ngebula olunaku lumu ebigezo bituuke .Ono avudde mu ddwaliro okugenda okukola ebigezo ng’akozesa mmotoka eyamuweereddwa RDC w’ekitundu kino Fred Kalema.