Omusajja asse eyamusigulidde omukazi ku Ssekukkulu
Poliisi e Mityana enoonya omusajja Peter Bafiirawala omutuuze ku kyalo Mamba mu gombolola ye Kalangaalo lwa kutta abadde mukwano gwe Godfrey Ssekiwunga lwa nkayana za mukyala. Tukitegedde nti bano baabade ku mwenge, bafiirawala weyakizuulidde nti ssekiwunga amwagalira omukyala , ekyaddiridde kwabadde kulwanagana okukakana nga mutuzze ekiso. Mukaseera kano poliisi ekyanoonya Bafiirawala abitebye.