Ekikangabwa kibuutikidde ab'e Mityana omusajja bwakakkanye ku munne n’amutematema okutuusa lw’amusse
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Mamba ekisangibwa mu gombolola y’e Kalangaalo e Mityana omusajja bwakakkanye ku munne n’amutematema okutuusa lw’amusse. Abatuuze batutegeezezza nga bano bwebaabadde ab’omukwano okutuusa lwebafunye obutakkaanya nga kigambibwa obuzibu bwavudde ku mukazi.