Sharifah Bazeki alondeddwa ku bwa Nnankulu bw'ekitongole ki KCCA
Omukulembeze w’e ggwanga yalonze Sharifah Bazeki ku bwa Nnankulu bw'ekitongole ki KCCA ne Benon Kigenyi ng'omumyukawe, bano bazze mu bigere bya Dorothy Kisaka ne David Ssali Luyimbazi abaagobwa gyebuvuddeko. Ekiwandiiko ekivudde mu wofiisi ya pulezidenti kiraze nti kati bano amannya gaabwe gawerezeddwa mu minisitule ekola ku by’abakozi, bakole ku kontulakiti zaabwe, n’engeri gye bakwasibwamu wofiisi mu butongole. Bano bagenze okulondebwa nga wofiisi ekuumwa Frank Rusa eyali munnamateeka w'e kitongole kino.