Busiika awuumye nga abavuzi beetwala mu mpaka za Champions Sprint
Ba ddereeva ba mmotoka z'empaka 56 be beetabye mu mpaka za Champions Sprint olwaleero e Busiika ku Uganda Motor-sports arena. Abaavuzi abeetabyemu batubuulidde ng'empaka bwezibayambye mu kwetegekela sizoni y'omwaka oguuja ezitandika omwezi ogujja. Empaka zino zeezigaddewo sizoni y'omuzannyo gwa motoka z'empaka omwaka guno ate nga zeezisembyeyo mu lwokaano lw'engule ya national sprint championship.