Piuos Vuso abadde ‘asikaali’ kati munnabyanfuna
Ssabiiti bbiri emabega, ettendekero lya Kyambogo lyatikkira abayizi abasoba mu mutwalo mulamba. Mu bayizi abaatikkirwa essomo ly'okubalirira n'ebyenfuna, Pious Vuso okuva mu district ye Obongi mwe yali. Vuso ono okusoma kwe tekubadde kwangu kubanga abadde akola mulimu gwa bukuumi ne kampuni y'ebyobwerinda ey'obwa nnanyini era nga mw'ajja ekikumi. Atubuulidde nti ddigiri eno etegeeza kinene gyali n'ekika kye, kubanga y'asoose okusoma n'atuuka ku ssa lino.