Theodore Ssekikubo alabudde abeekobaanye okumusuula
Omubaka w'e Lwemiyaga Thoedore Ssekikubo yeeweze okufaafagana ne muto wa President Museveni Michael Nuwagira eyeeyita Toyota wamu n'abaaliko abajaasi mu ggye lya UPDF okuli Maj. Gen. Fenehandi Keitirima ne Brig. Gen. Emmanuel Rwashande abeesomye okutondawo akabinja akamulwanyisa. Ku bbalaza ya wiiki eno, Ssekikubo yakubwa omukka ogubalagala n'abawagizi be bwe baali bagezaako okuyingirira olukiiko abakulu abo lwe baakuba mu kitundu kye, okutongoza omuntu bbo gwe baagala NRM esimbewo mu kalulu ka 2026 asiguukulule Ssekikubo. Okusinziira ku Ssekikubo, abajaasi abo tamanyi bwe baatandika kweyingiza mu byabufi bya kitundu kye batuuse n'okussa abawagizi be ku bunkenke.