Omusango gwa Besigye, Martha Karua azzeemu okusaba olukusa
Ssaalongo Erias Lukwago akakasizza nga Munnamateeka munne Martha Karua okuva mu ggwanga ly'e Kenya bweyazzeemu okuteekayo okusaba kwe eri akakiiko k'eby'amateeka , Law Council, kamukkirize okukulemberamu bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale abakyali ku alimanda e Luzira. Okusinziira ku Lukwago balina essuubi nti ku luno akakiiko ssi kaakwekwasa nsonga yonna kubanga baafubye okutuukiriza buli kakwakkulizo akayinza okuba nga keekaalemesa okusaba okwasooka.