Eby’okwerinda ku palamenti bisiibye binywevu nga etteeka ku bbago ly'emmwanyi liyisibwa
Eby'okwerinda okwetooloola palamenti bisiibye binywevu ddala okulaba ng'embeera teva mu nteeko, ababaka mu palamenti bwe babadde bayisa ebbago ly'etteeka ku mmwanyi erigendereddwamu okusattulula ekitongole ky'emmwanyi ki UCDA.Okuyingira Palamenti kubadde kwa nkalu kuba buli omu abadde asooka kukeberwa nga mu ngeri etali ya Bulijjo ne Sipiika wa palamenti Anita Among naye akebereddwa. Ezimu ku nguudo ezeetoolodde Palamenti nazo ziggaddwa ekivuddeko akalippagano k'ebidduka akamaanyi.