Abakulembeze b’abakyala abasiraamu basabye banaabwe okwenyigira mu kukola emirimu egyivaamu ensimbi
Abakulembeze b’abakyala mu busiraamu basabye banaabwe okwenyigira mu kukola emirimu egyivaamu ensimbi okuyambako ku nyingiza y’awaka. Bagamba abakyala obuvunaanyizibwa baabulekera basajja bokka ekiviirako obutabanguko bw’omumaka okweyongera. Bino bituukiddwako mu lukung’aana olutegekeddwa abakyala abasiraamu ab’egattira mu kibiina kyabwe ki “Association of Muslim Women” ku muzikiti gwa Dinia e Kabowa.