Ssabasumba Paul Ssemwogerere mwenyamivu olw’ebyo ebigenda mu maaso mu ggwanga
Ssabasumba w’essaza ekkulu lye Kampala Paul Ssemwogerere mwenyamivu olw’ebyo ebigenda mumaaso muggwanga omuli okulinyirira eddembe ly’obuntu, bw’enguzi, ebbula ly’emirimu mu bavubuka, ekibba ttaka n'ebirala bingi. Bino abyogeredde mu lukiiko lw’abannamawulire lwatuuzizza oluvanyuma lwa Misa yamazaalibwa ga yeezu Kristu. Kati awanjagidde gav’t nabuli gw’ekikwatako okusalira embeera eno amagezi buli muntu asobole okweyagalira mu ggwanga lino.