Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala asabye bannayuganda okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala asabye bannayuganda bonna okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala. Okwogera bino abadde mukusaba kwa ssekukkulu ku lutikko e Lubaga. Eno Robert Kyagulanyi pulezidenti wa NUP gyasabidde bannayuganda okusabira abantu abakwatibwa obwemage abali mu makomera - ate ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okuba obumu.